0% found this document useful (0 votes)
1K views10 pages

Missa Y'okwabya Olumbe Lwa Taata e Mubende

This document contains the text and order of service for a Catholic Mass. It includes the entrance hymn "Christ the Lord is Risen Today", Gloria, readings from scripture, meditations, Gospel acclamation, Gospel reading from Matthew, prayers to the Holy Spirit, offertory, and closing hymns praising God. The Mass follows the typical structure including introductory rites, liturgy of the word, liturgy of the Eucharist, and concluding rites.

Uploaded by

Henry Kaweesa
Copyright
© © All Rights Reserved
We take content rights seriously. If you suspect this is your content, claim it here.
Available Formats
Download as DOCX, PDF, TXT or read online on Scribd
0% found this document useful (0 votes)
1K views10 pages

Missa Y'okwabya Olumbe Lwa Taata e Mubende

This document contains the text and order of service for a Catholic Mass. It includes the entrance hymn "Christ the Lord is Risen Today", Gloria, readings from scripture, meditations, Gospel acclamation, Gospel reading from Matthew, prayers to the Holy Spirit, offertory, and closing hymns praising God. The Mass follows the typical structure including introductory rites, liturgy of the word, liturgy of the Eucharist, and concluding rites.

Uploaded by

Henry Kaweesa
Copyright
© © All Rights Reserved
We take content rights seriously. If you suspect this is your content, claim it here.
Available Formats
Download as DOCX, PDF, TXT or read online on Scribd
You are on page 1/ 10

MISSA:

Entrance: CHRIST THE LORD IS RISEN TODAY


1. Christ the Lord is ris’n today, Alleluia!
Sons of men and angels say, Alleluia!
Raise your joys and triumphs high, Alleluia!
Sing, ye heav’ns, and earth reply, Alleluia!

2. Love’s redeeming work is done, Alleluia!


Fought the fight, the vict’ry won, Alleluia!
Jesus’ agony is o’er, Alleluia!
Darkness veils the earth no more, Alleluia!

3. Lives again our glorious King, Alleluia!


Where, O death, is now thy sting? Alleluia!
Once he died our souls to save, Alleluia!
Where thy victory, O grave? Alleluia!

KRISTU AVUDDEYO AMYANSAMYANSA


1. Eyefuula omuntu n’akka, n’abeera ewaffe ku nsi,
N’attibwa ku lwaffe abantu, leero azuukidde.

Luwangula Kristu omuzira amegguzza (sitaani)


Olwaleero, leero tununuddwa.
Kristu avuddeyo amyansamyansa, ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa, Alleluia

2. Olwaleero twenyumiriza, anti walumbe asingiddwa


Olwaleero tumukulisa nnyo, Kristu awangudde.

1. Eggulu n’ensi bisagambiza lwe Yezu Kristu omuwanguzi


Eyafa luli ku musaalaba, wuuno azuukidde.

2. Madalena akedde n’abalala ku ntaana bazze okuziraga


Babuliddwa anagyawo ejjinja, so Yezu yagenze dda.
3. “ Bakazi mmwe munoonya ani?” “Tunoonya Yezu eyaziikiddwa”
Taliimu muno anti takyali mufu, Yezu azuukidde.

4. Mugende mugambe era abatume be nti e Galiraya gyebaba balaga


Bamusangeyo gyeyabesoose anti bweyayogera.

5. Emirembe kummwe gibeera, nze nzuuno mmwe nno temuntya


Kambalage ebibatu, n’ebigere, anti nzuukidde.

6. Olwokuba ye okuzuukira nga n’obwaffe bukomye ku nsi


Tuli bagumu tulizuukira….Alleluia.
Kyrie: MISSA BREVIS B flat

Gloria: EKITIIBWA KIBERE ERI KATONDA (Trinity Mass)


Bass; Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda
Chorus;
Ekitiibwa kibeere eri Katonda, yekka;
Naabo abalungi ye basiimye, emirembe gibeere kubbo.
1. Tukusinza, tukutenda anti ebyo by’okola Mukama bya ttendo.
2. Katonda Mukama ggwe omuyinza Patri ggwe Kabaka w’eggulu otendwa.
3. Omutiibwa wekka Omwana owa Kitaffe ggwe katugulumize,
4. Ayi Mukama, Kaliga ka Katonda Yezu Kristu Mukama otendwa.
5. Ggwe ajjawo ebibi by’ensi saasira saasira, tuwanjaze tuwulire.
6. Ggw’atudde ku ddyo gwa Kitaffe, saasira saasira tuwanjaze tuwulire.
7. Kubanga ggwe Mutukirivu asukkiridde wekka, ggwe Yezu Kristu.
8. Wamu ne Mwoyo Mutukirivu, mu kitiibwa kya Patri, Amiina, Amiina.

ESSOMO ERISOOKA

Byetusoma mu kitabo ekisooka ekya Basekabaka ( 2, 1- 4 , 10-12)

Munnaku ezo, Daudi bweyalaba ng'entuuko ze ziri kumpi n'akutira omwana we Solomoni
ng'agamba nti ; nze ngenda bonna ab'okunsi gyebagenda. Beera wamaanyi, werage bwoli
omusajja. Kwataanga Omukama Katonda wo byeyakukutira; otambuliranga mu makubo
ge,okwatanga amateeka ge, ebiragiro bye, empisa ze n'ebyo byeyalangirira nga
bwebyawandikibwa mumateeka ga Musa; olwo lwolifuna omukisa mubyonna byokola
nemubyonna byewessaako, Omukama lwalitukiriza byeyansubiza,nti ; abaana bo bwe
baneegenderezaanga mumayisa gaabwe, nebatambuliranga mumaaso gange mubwesigwa
n'omutima gwabwe gwonna, n'emmeeme yaabwe yonna tolibulwa musika atuula ku
nnamulondo ya Yisraeli. Bwatyo Daudi n'agalamira nebajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya
Daudi. Yisraeli, Daudi yagifugira emyaka ana; omusaanvu yagimala mu Hebroni; mu
Yeruzalimu namalamu asatu mu esatu. Awo Solomoni n'atuuka ku nnamulondo ya Daudi,
obwakabaka bwe nebunywerera ddala.

Ebyo Omukama y'abyogera.

Meditation: BW’OMWEWA OMUKAMA (Msgr. Magembe)


Bw’omwewa Omukama, ne weemaliza Omukama,
Talikujuza Omukama oyo, talikujuza emirembe.

2. Abamugoberera ……Talikujuza emirembe


Talibajuza…………..Yabasuubiza okubaweera mu nsi muno ne gye bujja.
3. Entalo zo alizirwana, obulamu bwo alibukuma, Talikujuzza emirenbe.
Aliba wuwo Omukama, aliba wuwo, naawe olibeera eyo eyo mu ggulu.

a) Buli eyevaamu n’amugoberera alimuwa – Empeera


b) Buli eyeresa eby’ensi eno alimuwa – Empeera
c) Buli alireka n’abazadde alimuwa – Empeera
d) Buli alireka n’emikwano alimuwa – Empeera
e) Buli alireka n,abaana alimuwa – Empeera

Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana…


Ku mpeera y’abalungi emirembe
Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana…
Ku mpeera y’abanyikira obutoosa
Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana…
Ku mpeera y’abalwana abazira

N’omusalaba olifuna --- Nobonaabona


Nobonaabona ku lulwe--- Olwa Kristu
N’ebizibu olifuna--- Ogumanga
Ne weewayo ku lulwe --- Eyakuganza
//Osaana onywere ggwe --- Ku Katonda
Omusalaba togutya --- Gwe gulokola//x2

Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera


ng’omusenze
Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
ng’onywedde
Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
bw’omwewa.

Kwata ekkubo ery’akanyigo,


Kwata ekkubo era effunda
Nywera ssebo ggwe toddirira.
Alikutwala obeere waggulu eri,
Waggulu awaladde ng’omuli ku gwa ddyo.
Ddunda alikuwa empeera………………Alikuwa
Ddunda alikuwa empeera………………Alikuwa
Alikuwa empeera.

ESSOMO ERY’OKUBIRI

Ebya Katonda tobikwatirwanga nsonyi.

Byetusoma mu Bbaluwa ey'okubiri Paulo omutume gyeyawaandikira Timoteo ( 1;6_8.


13_14)

Omwagalwa ennyo ; kyenva nkujukiza okuzukusa enneema Katonda gyeyakusaamu


olw'okukusaako emikono gyange. Anti Katonda ekirabo kyeyatuwa si Mwoyo wakutya ;naye
Mwoyo w'amaanyi n'okwagala n'okwetangira. Awo nno ebya Mukama waffe tobikwatirwanga
nsonyi,oba nze omusibe we naye gumira ebizibu olw' Evanjiri, nga weesiga obuyinza bwa
Katonda eyatulokola atuyita tubeere abatuukirivu. Ebigambo ebirimu ensa bye wawulira luli mu
kamwa kaange bigoberere ddala mukukiriza, mukwagala okuli mu Kristu Yezu. Wakwasibwa
okukuuma ekintu eky'omuwendo ennyo ; kikuume nga Mwoyo Mutuukirivu asula mu ggwe
akuyamba.

Ebyo Omukama y'abyogera.

Gospel Acclamation: MUYIMIRIRE TWANIRIZE KRISTU


1. Muyimirire twanirize Kristu
Omuzira wuuno atuuse mu ffe.

2. Mwe mukimanye ye Kigambo,


Taata gwatunye wuuno atuuse mu ffe.
Tukwanirizza x3
Kristu gwe Kabona waffe ALLELUIA
Musakanye Kristu tukwanirizza
Kristu tukukkirizza ALLELUIA
3. Ffe bulijjo y’atutwala gy’ali
mu Ggulu Taata n’aba naffe.

EVANJIRI

Musanyuke,mujaguze kubanga empeera yammwe nnene.

Ebigambo by'evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo ( Omutwe 5,1-
12a).

Mu budde buli: Yezu bweyalaba abangi batyo,n'ayambuka ku lusozi ; bweyamala okutuula;


abayigirizwa be nebamusemberera. N'ayasamya akamwa ke ng'agamba nti beesimye abaavu
mu Mwoyo kubanga bebannyini bwakabaka bwa Katonda. Beesiimye abateefu,kubanga
bebalirya ensi. Beesiimye abasinda kubanga bebalikubagizibwa. Beesiimye abalumwa enjala
n'ennyonta eby'obutuukirivu kubanga bebalikkuta. Beesiimye ab'ekisa kubanga bebarigirirwa
ekisa. Beesimye ab'omutima omulongoofu, kuba bebaliraba Katonda. Beesimye abaleeta
emirembe kuba bebaliyitibwa abaana ba Katonda. Beesiimye abayigganyizibwa
olw'obutuukirivu, kubanga bebannyini bwakabaka obw'omuggulu. Mwesiimye
bwebanaabavumanga, bwebanaabayigganyanga, bwebaannakonjeranga buli kigambo kibi
kyonna okubeera nze, nga balimba; Musanyuke mujaguze kubanga empeera yammwe
muggulu nnene.

Ebyo Omukama y'abyogera.

Holy Spirit: AYI MWOYO MUTUUKIRIVU

Ayi Mwoyo Mutuukirivu Omutonzi waffe jjangu,


Otuule mu myoyo gyaffe, n’enneema zo zigijjuze.
1. Ayi ggwe omuwolereza
Ekitone hya Katonda eky’enjawulo,
Omuliro, n’okwagala,
Mbeera ye ggwe nsulo y’enneema.
2. Otuwe n’okutegeera
Otuseemu n’okwagala
Otujjuze n’amaanyi go
Mu mubiri ne mu mwoyo.
3. Otugobeko Sitaani
Otuwe emirembe ku nsi
Otukulembere ffenna,
Otuwonye ennaku zonna.

Offertory: KATONDA WAFFE OYO


Katonda waffe oyo – Nnamwebaza ntya? (3)
Olw’ebirungi enfaafa by’atuwadde?
Nga tweyanze! Katumuddize kw’ebyo by’atuwadde
Ebivudde mu kutegana okwa buli nkya
(Ssebo ow’ekisa ebyaffe bisiime
Anti biraga omutima ogusiima) (2)
Ogw’abaana bo.

1. Laba omugaati, laba n’eviini gye tuleese,


Laba n’amakula g’otuwadde tugaleeta.
Tobigaana, bitono nyo, biraga Kitaffe
Bwe tusiima Taata by’otuwadddewebalege.

2. Tunaakuwa ki, ddala ky’osiima nannyini nsi?


Laba n’obulamu bw’otuwadde tubuleeta.
Tobigaana…………….

3. Ebintu by’ensi, tubiwe Ddunda atwagala nnyo,


Tumuwe ebilala by’atuwaddeolw’ekisa kye.
Tobigaana……………..

4. Nnaakuddiza ki, ddala eky’ebbeeyi ekikugyamu?


Kino kye nsobola kye nkuwadde onokitwala.
Tobigaana…………….

BYEBINO EBIRABO DDUNDA

Byebino, Lugaba Ddunda, ebirabo byo Ddunda……..bitwale


Bye tuleese ffe nga tujaganya, ffe abaana bo, Ddunda katonda……..bisiime.
Tunaakuwa ki ggwe…….ekisaana?
Tunaakuwa ki ggwe……..ffe abaavu?
Mpozzi kitaffe........katuleete evviini gy’otuwa.
Mpozzi kitaffe …….katuleete omugaati gw’otuwa.
Tubigatteko obulamu obwaffe, bye birabo byaffe ebya leero.

Bass/ Tenor Sop/ Alto


1. 1. Ekibiina kyonna……… kirina essanyu Ddunda mu maaso go
Amakula go tuleeta…….galaze essanyu taata ffe lye tulina
Okuddiza Ddunda omuganzi, katonda waffe ggwe osaana, osaana kutendwa Ddunda
Lugaba asinga.

2. Ekibiina kyonna,……tuzze kwebaza Ddunda ffe by’otuwa,


Amakula go tuleeta…….. kuba kuddiza Ddunda abitegeka
Okuddiza Ddunda …………………..
3. Ebirungi byonna……. by’otuwa ssebo bingi otwagala;
Amakula ge tuleeta,….. kuba kuddiza Ddunda abitegeka
Okuddiza Ddunda…………

4. Tukwebaza nnyo ggwe mukama asiima ebyaffe……….tukwebaza nnyo tukwebaza nnyo


Namugereka.
Tukwebaza nnyoggwe mukama ali wano naffe………….
Tukwebaza nnyo ggwe mukama akuuma abanaku……………..
Tukwebaza nnyo ggwe mukama abibaza ebyaffe………….
Tukwebaza nnyo ggwe mukama asobola ebingi………….
Tukwebaza nnyo ggwe mukama atumanyi abaana………..
Tunaajula ki w’oli mukama Ddunda kitaffe…………

Sanctus: ST. JOHN

Lamb: SSAMULA

Communion: GUIDE ME O THOU GREAT


1. Guide me, O thou great redeemer,
Pilgrim through this barren land;
I am weak, but thou art mighty,
Hold me with thy powerful hand:
Bread of Heaven (2),
Feed me till I want no more (2)

2. Open now the crystal fountain,


Whence the healing stream doth flow;
Let the fire and cloudy pilaar
Lead me all my journey through;
Strong deliverer (2),
Be thou still my strength and shield (2).

3. When I tread the verge of Jordan,


Bid my anxious fears subside,
Death of death, and hell’s destruction,
Lead me safe on Canaan’s side;
Songs of praises (2),
I will ever give to thee (2).

MIREMBE OMUKAMA
1. Mirembe Omukama ayi Yezu omwagalwa
Siyinza kwogera leero nkusinze ntya
Mujje mwe Bamalayika nammwe bannaggulu mmwena
Tusinzize wamu Nyini butukuvu.

2. Ayi Yezu nkwebaza ku lw’okunkyalira


Leero nkweyanze ntya nga bwe kisaanira
Essanyu limbugaanye nnyo
Onyambye weebale wamma ggwe onsaasidde.

3. Nkusanyuse na ki? Laba bwendi bwendi


Ebyange ze nsobi nsale magezi ki?
Maanyi neefule omuddu wo ka nngende busenze bwo
Bwentyo nkwewongere nga bwe bw’onnewadde.
4. Nnyweza n’eneeena yo nkwate ebiragiro
Gumya Ekleziya wo okkume abaana bo
Aboononyi bakomyewo gy’oli mu tabernakulo
Tuwe emirembe gyo mu ssakramentu lyo.

5. Ayi mmanu entukuvu, mugaati gw’eggulu,


Tuwe obunyiikivu n’ensa mu mirimu
Ggwe ntanda y’abatambula ggwe ndasi y’abazirika
Ggwe ddala ettukuvu tulinnyise eggulu.

Thanksgiving: TE DEUM - GGWE KATONDA (Fr. Joseph Namukangula)

Ggwe Katonda, ggwe Katonda


Tukugulumiza ggwe tukusinza.
Ggwe Mukama tukutendereza.

1. Ggwe Katonda tukugulumiza


Ggwe Omukama tukutendereza
Ggwe Patri ataliko kusooka
Ensi yonna ekutendereza.

2. Ggwe ggwe batendereza bamalayika bonna


N’eggulu n’amanyi gonna wegafa genkana
Bawokola obutassa ngabakuyimbira.

3. Mutuukirivu, mutuukirivu
Mukama Katonda ow’obuyinza.
Bijjudde ensi n’eggulu
Obukulu bw’ekitiibwa kyo ekyo.

4. Ekibinja ky’abatume eky’ekitiibwa


N’abajulizi ab’ettendo bakutendereza
Eggye ly’abajulizi elitemagana enyo
Likutendereza.

5. Munkulungo y’ensi yonna w’efa ekoma,


Eklezia omutukuvu
Ggwe Patri ow’obukulu obutagereka
Akutendereza.

6. Wamu n’omwana woo mu omutiibwa


Ggwe wazala yekka oyo
Ne mwoyo mutuukirivu omukubagiza
Akutendereza.

7. Ekitiibwa ekya Patri n’ekya mwana


N’ekya mwoyo mutuukirivu
Nga bwe kyaliwo oluberyeberye
Nakakano, nabulijjo
Emirembe n’emirembe AMIINA.

Exit: TUKULAMUSIZZA
1. Tukulamusizza Nnyaffe ow’ekisa. Tukuvuunamidde tukwewombekedde. Tukuvuunamidde
tukwewombekedde.

2. Abaana abawere tubakwasizza Obawambaatire obaleze ekisa Obawambatire obaleze ekisa

3. Abakulu nabo bakowola gy’oli Obaseeko omwoyo bakusaba bingi Obaseeko omwoyo
bakusaba bingi.

4. Olunaku lukye atenga lwa ssanyu Lwe tuliba naawe wamu ne Yezu Lwe tuliba naawe wamu
ne Yezu.

Exit: KATONDA ALIBAWEERA


Katonda alibaweera abakola obulungi, katunywere tufube
Laba Yeruzalemu ekibuga ekikulu, ly’eggulu y’empeera y’eka ewaffe.

1. Obeeranga mwenkanya ng’olamula omugwira n’omunaku tomugoba.


Bw’oyamba abanaku ng’oyambye ye alikuweera.

2. Ogunjulanga abaana mu ddiini, bwe butume obusooka.


Obutume bwa Kristu abutuusa ye alimuweera.

3. Ekisulo ky’ensi eno kyaluwunguko, ku nsi kuno tuyita lumu.


Emirembe emituufu gye giri eri ew’omukama.

Other Songs: NEARER MY GOD TO THEE

1. Nearer, my God, to thee,


Nearer to thee!
E’en though it be a cross
That raiseth me.
Still all my song shall be
Nearer, my God, to thee,
Nearer, my God, to thee,
Nearer to thee!

2. Though like the wanderer,


The sun gone down,
Darkness be over me,
My rest a stone,
Yet in my dreams I’d be
Nearer, my God, to thee,
Nearer, my God, to thee,
Nearer to thee!

3. There let the way appear,


Steps unto heav’n;
All that thou sendest me,
In mercy giv’n;
Angels to beckon me
Nearer, my God, to thee,
Nearer, my God, to thee,
Nearer to thee!

TULIZUUKIRA (Fr. James Kabuye)

Ekidd.: Tulizuukira, ffenna tulizuukira

Tulizuukira ffe mu kitiibwa kya Yezu

Ku lw’oluvannyuma, kw’olwo. x2

1. Nga Kitaffe bwe yazuukiza Omuweereza we oyo Yezu,

Naffe twesiga, era tukakasa,

Ffenna abamumanyi, ng’alituzuukiza!

2. Ng’omukama bwe yayogera, nga ye w’obuyinza obungi;

Naffe twesiga, era tukakasa,

Ffenna abamumanyi, ng’alituzuukiza!

3. Yezu Mukama yayogera, nti: Omuweereza we ng’afudde,

Tafa bumbula, kuba alizuukira,


Ng’ensi eno eweddewo, ku lwoluvannyuma.

You might also like